2 Kings 21:19-26

Amoni Kabaka wa Yuda

19Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 aN’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. 21N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. 22 bYava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.

23 cAwo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. 24 dAwo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.

25Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 26 eKabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.

Copyright information for LugEEEE